BYA TONNY EVANS NGABO
Ng’ebula ssaawa busaawa okutuuka ku lunaku mulindwa olwa June 3, olw’okulamaga ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo, ekkanisa ya Uganda ekyetaaga ensimbi eziwerera ddala obukadde 600 okusobola okumaliriza buli kimu ekyetaagisa mu kaweefube w’okuteekateeka emukolo gy’okulamaga.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kijjukizo ky’Abajulizi Abakulisitaayo e Namugongo, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Stephen Samuel Kazimba Mugalu agamba nti ne wankubadde nga wakyaliwo obwetaavu bw’ensimbi, enteekateeka zonna mu kadde kano zitambula bulungi.
Ssaabalabirizi Kazimba era asinzidde wano n’atendereza obulabirizi omukaaga okuva mu ttundutundu ly’e Rwenzori olw’okuteekawo enjawulo nga bano basobodde n’okusereka ekitundu ekyali kisigadde ku kizimbe ekigenda okubeeramu okusaba kwokujjukira Abajulizi ba Uganda ku lunaku lwa Mmande.
Bp. Lauben Kisembo nga ye ssentebe w’enteekateeka z’okulamaga kw’omwaka guno mu Bakulisitaayo era nga ye Mulabirizi w’obulabirizi bw’e Rwenzori akunze Bannayuganda okujjumbira okulamaga kw’omwaka guno ewatali kubeerako kye beekwasa.
Wabula atte yo ku ludda olwa olulala Olw’Abakatoliki, Mmisa ez’enjawulo ze zigenda mu maaso ng’eno abalamazi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bwe bagenda mu maaso n’okuyiika okukirako amazzi.
Fr John Bosco Adia okuva mu parish y’e Uleppi mu Nebbi Diocese bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa akawungeezi k’eggulo, yalabudde abakyala esangi zino abagufudde omugano okuwakulamu embuto nga tebalimu na kutya kwonna ku biyinza kuddirira nti bangi ku bbo bandisubwa empeera mu ggulu.
Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/ensimbi-obukadde-600-ze-zikyetaagibwa-olwentambuza-ennungi-eyemikolo-gyokulamaga-e-namugongo/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=ensimbi-obukadde-600-ze-zikyetaagibwa-olwentambuza-ennungi-eyemikolo-gyokulamaga-e-namugongo