News Everyday

Eyali Ssaabawolereza wa Buganda Alabudde ku Nkwata Y’enkaayana ku Ttaka

BYA TONNY EVANS NGABO
| WAKISO | KYAGGWE TV |
Gavumenti erabuddwa nti singa teteeereza nkaayana wamu n’emivuyo egiyitiridde ku ttaka naddala mu bitundu bya Buganda, eby’enfuna by’eggwanga byolekedde okudobonkana.  
Okulabula kuno kukoleddwa eyaliko Ssaabawolereza wa Buganda era nga yali Minisita w’essiga eddamuzi ne ssemateeka mu mwaka gwa 1977 munnamateeka Godfrey Sserunkuuma Lule.

Sserukuuma yabadde mu mboozi ey’akafubo ne Kyaggwe TV n’agamba nti okusinziira ku bigenda mu maaso ku ttaka esangi zino, gavumenti esaanidde  okubaako ky’ekola okutereeza ekitongole ky’eby’ettaka ekifumbekeddemu abantu abali emabega w’okucangacanga ebyapa by’abantu.
Ono agamba nti kyennyamiza okulaba ng’abamu ku bannanyini ttaka mu kiseera kino bakaluubirirwa okwewola ensimbi mu bbanka olw’ebyapa eby’enjawulo ebijingiriddwa ku ttaka lyabwe nga teri na kufaayo oba balinawo ebyapa oba nedda.

“Kino kisoboka kitya, gavumenti tulaba buli lukya evaayo n’enkola n’etutegeeza nti zaamulembe era zigenda kuyamba okukuuma ettaka n’ebyapa by’abantu nga biri gguluggulu naye eby’embi, wadde guli gutyo, bbo abafere tebannassa mukono,” bwe yategeezezza.
Sserunkuuma mu kiseera kino ali mu myaka gy’okuwummula okuvaayo ku nsonga eno kiddiridde enkaayana ez’amaanyi ezigenda mu maaso mu ggombolola y’e Bussi nga ba nnannyini ttaka basula ku tebuukye olwa minisitule y’eby’ettaka okutandika okutaggulula blocks ez’enjawulo bbo kye bagamba nti lukwe lwakubatwalako ttaka lyabwe ekibawalirizza olwa leero okugumba ku kitebe kya lands e Wakiso nga baagala okunnyonnyolwa.

Munnamateeka ono akkaanya n’ekya ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka bwe yategeeza nti omukozi wa gavumenti yenna aneenyigira mu bikolebero ebifiiriza gavumenti ensimbi waakuvunanibwa ng’omuntu ssekinoomu  sso ssi gavumenti kufiirwanga nsimbi buli kadde.
Bbo abamu bannannyini ttaka okuva mu ggombolola y’e Bussi  nga bakulembeddwamu Jingo Eddy baasinzidde ku kitebe kya lands e Wakiso  gye baaagenze  okunyonyolwa ku bigenda mu maaso oluvanyuma lw’ekiwandiiko  ekyafulumizibwa aba minisitule nga baagala okutaataaganya blocks z’ettaka kwe balina ebyapa.

Bano bagamba nti abataataaganya ebyapa byabwe bafubutuka ku kitebe kya minisitule ya lands e Kampala nga beerimbika mu kutereeza, sso nga ate ekigenderererwa kyabwe kyandiba nga kirala nnyo.
Denis Kaggwa nga y’akulira abapunta mu disitulikiti y’e Wakiso yategeezezza nga mukadde kano  bwe baayimiriza omuntu yenna okweruula empenda mu bitundu by’e Bussi okutuusa nga  obutakaanya buno bugonjoleddwa.
Ssabiiti ewedde minisitule y’eby’ettaka ng’eyita mu mwogezi waayo Denis Obbo yagumya abantu b’e Bussi nti mpaawo muntu yenna ayinza kubasiguukulula ku ttaka lyabwe.

 

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/eyali-ssaabawolereza-wa-buganda-alabudde-ku-nkwata-yenkaayana-ku-ttaka/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=eyali-ssaabawolereza-wa-buganda-alabudde-ku-nkwata-yenkaayana-ku-ttaka

Comments are closed.