News Everyday

Abakyala Abatayagala Kuyonsa Mwerinde Kkansa W’amabeere!

0

BYA TONNY EVANS NGABO
WAKISO | KYAGGWE TV | Nga Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obutebenkevu eri abalwadde mu kufuna obujjanjabi obutuukana n’omutindo (World Patients’ Safety Day), abakyala abatayagala kuyonsa balabuddwa okwerinda ekirwadde kya kkansa w’amabeere (breast cancer).
Okulabula kuno kukoleddwa minisita omubeezi ow’eby’obulamu akola guno na guli, Hanifa Kawooya Bangirana ng’agamba nti ennaku zino abakyala bangi naddala abawala abato oluzaala ng’abaana batandika kubawa mata ga nte, nga tebaagala mabeere gaabwe kugwa nga beerabidde nti kino kya bulabe nnyo eri obulamu bwabwe n’okusinga amabeere okugwa.
Minisita Hanifa Kawooya ng’alambula omwoleso.
Okusinziira ku basawo abakugu, obulwadde nga kkansa w’amabeere emu ku nsonga ebuleeta be bakyala abatayagala kuyonsa.
Uganda olunaku luno olwa World Patients’ Safety Day olukuzibwa buli nga September 27 yalukulizza mu disitulikiti y’e Wakiso ku ddwaliro lya Wakiso Health Centre IV ku Lwokutaano.
Minisita era yatabukidde abasawo mu malwaliro ga gavumenti be yagambye nti ensangi zino bafuuse mmo mu kumokkola abalwadde n’okubalangira ssaako okubalengezza nga balinga ababayamba obuyambi kye yagambye nti si kituufu.

Yagambye nti kikyamu nnyo, okulaba ng’abasawo abakuba ebiragaano okujjanjaba abalwadde ate bwe babeefuulira ne batandika okubawemula, okubavuma n’okubalengezza mu ngeri ez’enjawulo nti abakola bino baba bavudde ku birayiro bye bakuba nga bafuluma mu matendekero g’obusawo ku mitendera egy’enjawulo ate ne bwe baba baweebwa emirimu.
Alfred Malinga nga y’akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso yawuniikirizza abaabadde ku mukolo bwe yategeezezza nti Bannayuganda bangi bafa olw’obulagajjavu bw’abasawo okubawa eddaggala eritakwatagana na bulwadde bubeera bubaluma nga bano yabategeezezza nti naye kyamutuukako omu ku b’oluganda lwe bwe yagwa mu katego kano, abasawo ne bamuwa eddagala eritaali ttuufu okukkakkana ng’aluguzeemu obulamu!

Akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso, Dr Emmanuel Mukisa Muwonge yagambye nti ne wankubadde  ng’abalwadde beetaaga obujjanjabi  obw’omulembe naye minisitule y’eby’obulamu  yandibadde erowooza ne ku basawo  abakolera mu malwaliro ga gavumenti abatafunamu ku kadde kwewumuzaamu.
Dr. Mukisa agamba nti eno nayo nsonga nkulu eviirako abasawo bano okukoowa ne batuuka okuwa abalwadde obujjanjabi obutatuukanye ate ekiteeka obulamu bwabwe ku matigga oba oly’awo n’abamu okutuuka okufa.
Minisita Kawooya, abayizi n’abakungu abalala mu kifaananyi ekya wamu.
Ate ye Betina Nantege nga y’amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso yasabye minisitule y’eby’obulamu okwongera okuddukirira disitulikiti eno mu by’obulamu.
Nantege agamba nti wadde nga bakyetaaga amalwaliro amalala mu bitundu omutali malwaliro ate ng’abantu gyebali bangi, n’ago ge balina tegafuna ddagala limala ekireetera abalwadde okutuuka okugendayo nga teri ddagala, ng’eno nayo nsonga ekosa obuweereza bw’abasawo.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/abakyala-abatayagala-kuyonsa-mwerinde-kkansa-wamabeere/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abakyala-abatayagala-kuyonsa-mwerinde-kkansa-wamabeere

Leave A Reply

Your email address will not be published.