News Everyday

Abasawo Ab’America Bawadde Abatuuze Obujjanjabi Obw’obwereere

BYA BRENDA NANZIRI
| BUIKWE | KYAGGWE TV | Obulwadde bw’amaaso bwe bumu ku ndwadde ezitawanya bannayuganda nga n’abamu kibavirako okulemererwa okukola okuyimirizaawo ffamire zaabwe nabo bennyini okwebezaawo.
Oluvannyuma lw’okutegeera ekizibu kino, abasawo abakugu bateekeddwateekeddwa mu lusiisira lw’eby’obulamu olutegekeddwa ekitongole kya “Youth Focus Africa Foundation” (YOFAFO) okuwa abantu mu muluka gw’e Bulyateete obujjanjabi. Omuluka guno gusangibwa mu disitulikiti ye Buikwe.
Abatuuze bajumbidde enteekateeka eno mu bungi okulaba nga beefunira bujjanjabi wamu n’okubudaabudibwa ku nsonga ez’enjawulo nga n’ebirwadde ebirala kw’obitwalidde.

Ezimu ku ndwadde endala ezijjanjabiddwa mu lusiisira luno mwe muli ppuleesa, ssukaali nga kino kibadde kikolebwa abasawo abakungu okuva mu ggwanga lya America.
Harrison Mwesigwa, akuliddemu enteekateeka eno ategezezza nti mu kunoonyereza baakiuzula ng’abatuuze bangi balumbibwa endwadde ne beekuumira nga n’oluusi bano ebirwadde bamanyi okubyesigamya ku birwadde by’ekinnansi oba obulogo ekitali kituufu.
Mwesigwa ategeezezza nti omulamwa g’wnteekateeka eno gubadde gwa kusembereza batuuze bano bujjanjabi okumpi we bali ate ku bwereere.

“Twesanze nga n’abasinga ku balwadde abajjumbidde bakadde ng’abamu n’abaana abaali babalabirira baafa tebakyalina abafaako. Abalala obwavu bungi ne bwe babeera balwadde ensimbi ezibatwala mu malwaliro tebazirina,” bw’ategeezezza.
Ssentebe w’ekitongole kino, Valence Rutaisire mu kwogerakwe agambye nti balina ekigendererwa eky’okutumbula obulamu bw’omuntu wamu n’okutuusa ku muntu asemberayo ddala obujjanjabi obusaanidde.
Rutaisire agasseeko nti balina n’enteekateeka ng’ekitongole okufunira abatuuze emmotooka ezigenda okubatusangako obujjanjabi mu bifo gye babeera.

Abatuuze abeetabye mu lusiisira lw’eby’obulamu luno basiimye nnyo enteekateeka eno era bategeezezza nti ebbula ly’eddagala ku ddwaliro lya gavumenti, engendo empavu ze batambula okusobola okutuuka ku ddwalwaliro, ssaako n’omuwendo gw’abantu abangi ku ddwaliro bye bimu ku bibasomooza ekiviirako abamu obutafuna bujjanjabi bwetaagisa.
Samuel Luligwa, ssentebe w’ekyalo asabye abavubuka okujjumbira ng’enteekateeka nga zino bwe ziba zizze mu bitundu byabwe.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/abasawo-abamerica-bawadde-abatuuze-obujjanjabi-obwobwereere/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abasawo-abamerica-bawadde-abatuuze-obujjanjabi-obwobwereere

Comments are closed.