News Everyday

Abasima Omusenyu mu Nnyanja Bakoze Effujjo ku B’akakiiko K’obutonde Bw’ensi

0

Ab’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi wamu n’abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso bakiguddeko abasima omusenyu mu nnyanja mu bitundu by’e Kasanje bwe babalabyeko ne bassaako kakokola tondeka nnyuka kwossa okuyiwa entuumu z’omusenyu mu kubo okubalemesa okutuuka mu kifo kino awaateekebwa aguuma wamu n’ebimotoka ebiyiikuula omusenyu okuva mu nnyanja Nalubaale.
Ssentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima agamba nti kati ekimala kimala bakooye ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu ggwanga ki NEMA okulekanga abantu aboonoona obutonde nga bbo batudde mu zi woofiisi balya bicepere.
Omubaka Naluyima n’abakulembeze abalala nga bali mu kulambula ewasimibwa omusenyu okumpi n’ennyanja.
Bbo abamu ku bakulembeze abalala okubadde meeya wa Kasanje ttawuni kkanso, Jonathan Gayira ne mmeeya wa Katabi  ttawuni kkanso, Ronald Kalema Basamul’ekkere basabye Ssenkulu w’ekitongole kya NEMA  Dr Akankwasa okuvaayo atandulule ku bigere atuukeko mu kifo kino yeerabireko n’amaaso  ge ebikolebwa.
Ate akulira ensonga z’obutonde bw’ensi ku disitulikiti y’e Wakiso Esau Mpoza agamba nti kati mu bwangu ddala bagenda kukolaganirawamu n’ebitongole ebirala okuyimiriza abantu bano abamalawo obutonde bw’ensi .

Wabula olunnaku lw’eggulo ku mikolo gy’okukuza obutonde bw’ensi egyabadde mu disitulikiti y’e Sironko, abakulu mu bitongole bya gavumenti ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi ne gavumenti baaweze okuzzaawo  wamu n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Kyokka bano abakulembeze b’e Wakiso babakubyemu ebituli nga bagamba nti bakoma ku kwogera bwogezi tebalina kye bakola ng’eno obutonde bw’ensi bwe butyoboolebwa.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/abasima-omusenyu-mu-nnyanja-bakoze-effujjo-ku-bakakiiko-kobutonde-bwensi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abasima-omusenyu-mu-nnyanja-bakoze-effujjo-ku-bakakiiko-kobutonde-bwensi

Leave A Reply

Your email address will not be published.