News Everyday

Amasomero Ageetabye mu Zookusunsulamu Ezinaakiikirira Uganda mu za East Africa Beemulugunyizza ku bacuba

0

| MUKONO | KYAGGWE TV | Amasomero Ageetabye mu Zookusunsulamu Ezinaakiikirira Uganda mu za East Africa Beemulugunyizza ku bacuba
RESULTS:
Amuka p/s Lira 2-5 St. Mary’s Mbarara
Mukono Junior School 0-0 Seeta Junior
Rays of Grace 3-0 Global Junior School Mukono
Mukono Junior School 4 – 0 Amuka P/S
Buliigo P/s Iganga 0-1 St. Mary’s Mbarara
The Crane P/S 8-0 Dallenah P/S Mukono
Vision for Africa P/S 1-0 Step Academy Mbale
Mukono Junior School 2-1 St. Mary’s Mbarara
Global Junior 0-4 Jesjonny P/S Mukono
Jesjonny 0-0 Bulambuli
Owesis 6-0 Step Academy Mbale

Amasomero 35 aga pulayimale okuva mu disitulikiti ez’enjawulo eza Uganda gakungaanidde mu munisipaali y’e Mukono gye gali mu kuvuganya mu kusamba omupiira n’okubaka.
Okusinziira ku Gilber Rukiza, omukungu atwala eby’emizaanyo mu minisitule y’eby’enjigiriza ategeezezza nti empaka zino zaakusunsulako amasomero aganeetaba mu mpaka z’emizannyo ez’amasomero ga pulayimale ku mutendera gwa East Africa ezinabeerawo mu August e Bukedea.

Rukiza agambye nti abazannyi 608 n’abakungu 52 okuva mu masomero ago be bamaze wiiki nnamba e Mukono nga bavuganya nga baluubiridde okufunawo ttiimu nnya ez’amasomero aganakiikirira Uganda mu mpaka za Federation of East Africa School Sports Association  (FEASSA).
Empaka zino ziyindira ku bisaawe eby’enjawulo omuli ekya Global Junior School, Bishop S.S, Bishop East P/S ne Bishop West P/S mu kibuga Mukono.

Olw’obudde obutono ttiimu zino bwe zirina, abaana omupiira bagusamba ne mu nkuba ng’efudemba nga ttiimu z’amasomero okuli erya Global Junior e Mukono ne Jesjonny ogwazo zaagusambye wakati mu kire ky’enkuba eky’amaanyi.
Bbo abamu ku basomesa baavuddeyo ne balaga okwemulugunya nga bagamba nti ttiimu ezimu zaasambisizza abaana abasukka ku myaka 14 egy’essalira sso nga bano era balabika nga basoma ssiniya ne basaba abali mu mitambo gy’empaka okusalira ekizibu kino amagezi.

Syrus Ssemuhara atwala eby’emizannyo mu munisipaali y’e Mukono ku nsonga eyo agambye nti  obutafaananako nga bwe gubadde ng’abaana babeekebejja ne batuuka n’okubapima obuwanvu n’obuzito, ku mulundi guno baagoberedde Learner Identification Number (LIN) eziva mu minisitule kyokka n’agamba nti olukiiko lugenda kutuula lutunule mu bazannyi be beemulugunyizzaako.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/amasomero-ageetabye-mu-zookusunsulamu-ezinaakiikirira-uganda-mu-za-east-africa-beemulugunyizza-ku-bacuba/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=amasomero-ageetabye-mu-zookusunsulamu-ezinaakiikirira-uganda-mu-za-east-africa-beemulugunyizza-ku-bacuba

Leave A Reply

Your email address will not be published.