News Everyday

Bannakisinde Kya PLU Bakiise e Mengo, Batonedde Kabaka Amakula G’ente

0

| MENGO | KYAGGWE TV | Ng’ebula ssaawa busaawa okutuuka ku bijaguzo by’amatikkira ga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, ag’omulundi ogwa 31, agagenda okubeerawo ku Lwokusatu nga July 31, bannakisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU) bakiise embuga ne baleetera Beene amakula.
Aba PLU mu kifaanayi ekya wamu ne Minisita Anthony Wamala n’abakungu abalala ab’e Mengo.
Amakula ge baleese ag’emmotoka ekubyeko ente  gabatikkuddwa Minisita wa Kabaka ow’obuwangwa, embiri, obulambuzi n’eby’okwerinda, Anthony Wamala.
Minisita Wamala ng’era ye ssentebe w’enteekateeka z’Amatikkira abaanirizza ku lwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga.

Bano bamukwasiza ente 10 ng’amakula eri Kabaka ku matikkira ge agagenda okubeerawo olunaku lw’enkya.
Bano bakulemeddwamu Micheal Toyota Kaguta, Minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana, Balaam Barugahara Ateenyi, Omubaka wa palamenti owa kkonsituwensi y’e Kasambya Daudi Kabanda n’abalala.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/bannakisinde-kya-plu-bakiise-e-mengo-batonedde-kabaka-amakula-gente/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=bannakisinde-kya-plu-bakiise-e-mengo-batonedde-kabaka-amakula-gente

Leave A Reply

Your email address will not be published.