News Everyday

Bassentebe B’ebyalo Babanja Musaala – Mbu N’omutwalo Ogwa Buli Mwezi Gulemeddeyo!

0

BYA TONNY EVANS NGABO
| BUSSI | KYAGGWE TV | Bassentebe b’ebyalo mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso batabukidde gavumenti olw’okubakandaaliriza okubasasula ensimbi omutwalo mutwalo ogwa buli mwezi gw’ebasasula olw’obuweereza bwe bakola mu bitundu byabwe.
Bano bagamba nti okumala omwaka mulamba, tebafuna wadde ekikumi ky’ensimbi nga kati y’ensonga lwaki basazeewo okusitula ku ddoboozi oba olw’awo abakulu abavunaanyizibwa banaabaako kye kye bakolawo.
Bassentebe bano baasinzidde mu lukiiko ku kitebe ky’eggombolola eno olwayitiddwa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika ne bamusaba okubategereza ku bekikwatako okukola ku nsonga eno bunnambiro.

Bano bagamba nti wadde akasente kano katono, olw’okuba baba baakakolera embalirira, kabayambako okubeerako obuvunaanyizibwa bwe batuukiriza olw’obulungi bw’obuweereza ku byalo byabwe.
Wabula bano tebali bokka, ne bakkansala ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Wakiso nabo ge bakaaba ge bakomba nga bagamba nti nabo mu kadde kano bamaze ebbanga erisoba mu myezi esatu nga tebalaba ku nsako yabwe.
Kkansala akiikirira e ggombolola ey’e Bussi, Sulaiman Ssenkubuge naye yasinzidde wano n’asaba minisitule ya gavumenti ez’ebitundu okwanguyaako ensimbi zino basobole okukendeeza akazito ke batadde ku bakulu ku disitulikiti.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika mu Lukiiko.
Y’e ssentebe w’eggombolola eno Mukalazi Charles Ssenkaddwa yategeezezza nti mu kadde kano gavumenti yandibadde erowooza ku nsonga ya kwongeza bassentebe bano nsimbi basobole okuteeka amaanyi mu kulondoola emirimu gya gavumenti okuviira ddala wansi ku byalo byabwe.
Wabula ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr. Matia Lwanga bano abagumizza nti ensimbi zaabwe baakuzifuna mu bwangu, wabula n’abalabula okwegatta okulaba nga balwanyisa bannakigwanyizi abamaliridde okusengula abantu ku ttaka lyabwe nga bwebazzenga bakikola okugobaganya abantu ku nnyanja.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/bassentebe-bebyalo-babanja-musaala-mbu-nomutwalo-ogwa-buli-mwezi-gulemeddeyo/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=bassentebe-bebyalo-babanja-musaala-mbu-nomutwalo-ogwa-buli-mwezi-gulemeddeyo

Leave A Reply

Your email address will not be published.