Bobi Wine Abudamizza Muyanja Ssenyonga N’abalala Abaagwa mu NRM
Eyali omubaka wa Mukono South mu palamenti ku kkaadi ya NRM era nga ye yagikwatira bendera mu kalulu akawedde n’awangulwa, Johnson Muyanja Ssenyonga eyayabulira ekibiina gye buvuddeko n’addukira mu NUP, ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine olwa leero ayanjuddwa ku kitebe ky’ekibiina mu butongole.
Muyanja ng’awerekeddwako omubaka wa munisipaali y’e Mukono mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke, ayaniriziddwa Kyagulanyi yennyini ssaako akulira oludda oluvuganya mu palamenti era omwogezi w’ekibiina, Joel Ssenyonyi ku kitebe ky’ekibiina e Kavule enkya ya leero.
Ono atambudde n’abakulembeze abalala abazze bava mu NRM okuva lwe baagwa mu kalulu ka 2021 omuli eyali omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Mpigi, Sarah Nakawunde Temulanda n’abalala.
St. Peter’s CoU P/S Seeks sh700m for Storeyed Building to Ease Overcrowding
Ng’ayogera, Muyanja atuzzizzaayo mu biseera bya 2017 lwe waaliwo ekiteeso kya Togikwatako mu palamenti ng’agamba nti ye oluvannyuma lw’okwebuuza ku bantu ne bamulaga oludda kwe baali bayimiridde era n’ayimirira kw’olwo bwe yaweebwa omukisa mu palamenti.
Agamba nti oluvannyuma lw’okulonda bw’atyo, n’ababaka abalala abava mu Buganda be yali akulembera nga ssentebe w’akabondo ka NRM mu palamenti baamulabirako ne balonda mu nnonda y’emu nga tewagira kya kukwata ku ssemateeka ng’era guno gwe musango ogwabalangibwa ye ne banne ne batandika okubawalana n’okubalaba nga bamembega mu kibiina sso ng’omusango ogubalangibwa gwali gumu gwa kuyimirira ku ludda lw’abantu.
Ono alaze bye yasobola okukola ekiseera kye yali mu palamenti ng’omubaka nga teyakoma ku kuteesa kyokka wabula yeenyigira ne mu kukola amateeka nga buno bwe buvunaanyizibwa bw’omubaka wa palamenti.
Ng’abaganda bwe baagera nti akivaamu y’akiyita ekyato, ne Muyanja naye ekibiina kya NRM takiviiriddeeko awo, aliko bingi by’akyogeredde ebitaagenda bulungi mu myaka emingi gye yakimalamu.
Omukulu W’Ekika Ky’Effumbe Mbirozankya Eyakulembera Banne Okugenda e Namibia Okulaba Kabaka Kkooti Emugobye!
Ono ategeezezza nti oluvannyuma lwa kkanso ez’enjawulo mu Buganda okuyitamu nga bakkansala abasinga ba kibiina kya NUP omuli ne munisipaali y’e Kira, nti bano baamutuukako nga ye omusomesa omutendeke era omukugu mu nsonga za gavumenti ez’ebitundu n’abasomesa.
Eky’ennaku, Muyanja agamba nti ne wankubadde yali wa NRM mu kiseera ekyo, bano aba NUP baamwesiga n’abasomesa kyokka ng’aba NRM tebamuwanga wadde okusomesa abakulembeze aba NRM nga bano bakoze gumu gwakumusiiga nziro ekyamuleetedde okwekyawa n’agenda gye bamwagala.
Ono agamba nti tagenze mu NUP kufuuka mukulembeze wabula ye Kyagulanyi gy’anaayagala gy’agenda okumutuma era waakubeera muwulize.
Muyanja ategeezezza nti asaze eddiiri n’abakulembeze abalala okuli ne ssentebe wa NRM ow’ekyalo ekimu mu Mukono South, omukwanaganya wa DP mu Kisoga n’abalala.
“Tubadde tujja n’abantu bangi naye baayisizza ebizindaalo nti bwe tujja bagenda kutukuba ttiya ggaasi naye bangi bakyali mu kkubo bajja,” bw’agambye.
Abakulembeze abalala abazze beesogga NUP
Hajji Lubyayi Kisiki ng’ono yali kkaada wa NRM kakongoliro okuva mu kibiina kya NRM naye yeesogga NUP. Lubyayi yalangirira okusala eddiiro ng’ayita mu pulogulaamu ya Radio y’obujjajja, CBS Londoola Ensonga ekubirizibwa Dr. Sam Kazibwe.
Ono yagamba nti ebbanga lyonna ly’abadde mu NRM, abakulu mu kibiina babadde bamulwanyisa nga bawagira Maurice Kagimu Kiwanuka okuviira ddala mu mwaka gwa 2011.
“Ekibiina kyaleeta Hajji Shafiq Mwanje nga ssentebe wa NRM ng’ono yawagira Deogratius Kiyingi okunnemesa ekifo ky’obwa mmemba bwa palamenti. Baayawula mu disitulikiti y’e Bukomansimbi ne bakola Bukomansimbi North ne South okuwa ekyanya bammemba ba NRM naye era baawagira Ruth Katushabe eyawangula Bukomansimbi North ku kkaadi ya NRM. Ssinga Pulezidenti Museveni ayagala okulwanyisa enguzi mu Uganda, alina kutandikira mu kibiina kya NRM,” bwe yagamba.
Yagattako; “Bwe kiba nga NRM bw’etyo bwe yasalawo okusasula amaanyi gange eri ekibiina okumala emyaka 25, be nkosezza mu mu buweereza bwange oba NRM bansonyiwe, nze nneegasse ku NUP.”
Lubyayi agamba nti mwetegefu okugenda okuvuganya ku kkaadi ya NUP kuba akkiririza mu bukulembeze bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu n’obukulembeze bw’ekibiina.
Sheilah Amaniyo naye yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mukono mu kulonda kwa 2021 n’awangulwa munna NUP, munnamateeka Hanifah Luswata Nabukeera. Gye buvuddeko, Amaniyo yasaze eddiiro n’ava mu NRM n’adda mu kibiina kya NUP.
N’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka, munna DP Jude Mbabali naye yasuulawo ekibiina n’adda mu NUP.
Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/bobi-wine-abudamizza-muyanja-ssenyonga-nabalala-abaagwa-mu-nrm/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=bobi-wine-abudamizza-muyanja-ssenyonga-nabalala-abaagwa-mu-nrm
Comments are closed.