Dr. Eron Lawrence owa Kyambogo University Eyasobya ku Muyizi Muzibe Azziddwa e Luzira
Dr. Eron mu kaguli ka kkooti e Nakawa.
Eyali omumyuka w’amyuma cansala wa University y’e Kyambogo avunaanyizibwa ku by’ensimbi n’okuddukanya yunivasite, Dr. Eron Lawrence azzeemu okusimbibwa mu maaso g’akulira abalamuzi ba kkooti ento e Nakawa n’amusomera omusango gw’okukabassanya omuyizi muzibe ow’emyaka 16 nga yali asoma S.4.
Dr. Eron atemera mu gy’obukulu 56 abadde mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege. Kkooti ekubyeko n’ebooga abantu abalina obulemu ku mibiri obw’enjawulo omuli bamuzibe, bakiggala, bannamagoye n’abalina obulemu ku mibiri obw’enjawulo nga bano bakulembeddwa abakulembeze baabwe.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, Dr. Eron ng’era ye yali akulira ffakalute etwala amasomo g’abaliko obulemu ku mibiri n’okubudaabudibwa ku yunivasite y’e Kyambogo nga October 12, 2023, yakabassanya omuyizi muzibe nga kigambibwa nti yamusiiga n’akawuka ka siriimu.
Oluvannyuma lw’akulira oludda oluwaabi Eunice Mbayine okutegeeza kkooti nga bwe bakyali mu kunoonyereza ku musango guno, omulamuzi Nantege agwongeddeyo okutuusa nga July 31, ate lw’alikomezebwawo mu kkooti guddemu okumusomerwa.
Mu bamu ku bakulembeddemu abalina obulemu ku mibiri ababadde mu kkooti mwe mubadde n’akulira ekibiina ekigatta bamuzibe, Francis Kinubi ng’ono ategeezezza nti kino bakikoze olw’okulaga nti bafaayo eri omwana ayakabassanyizibwa.
Kinubi ategeezezza nti abaana bangi abaliko obulemu ku mibiri abakabassanyizibwa ababakabassanyizza ne batakwatibwa kuvunaanibwa nga n’olw’ekyo guno omusango gwa Dr. Eron bagenda kugugoberera okulaba nga gukola ng’eky’okulabirako eri bassedduvutto abagwa mu kkowe eryo.
Agnes Aserait, akulira Reach a Voice Uganda ng’alaga obutali bumativu bwe ku nsonga ya Dr. Eron.
Oluvannyuma lw’okufuluma mu kkooti, bano bakutte ebipande ebiriko obubaka obuvumirira ebikolwa eby’okukabassanya abaana abaliko obulemu n’abakyala nga bali mu luggya lwa kkooti.
Agnes Aserait, akulira ekibiina ekirwanirira abaliko obulemu abakabassanyiziddwa n’okutuusibwako obulabe obulala obw’enjawulo, ekya Reach a Voice Uganda agambye nti bagenda kulemerako okulaba nga Dr. Eron avunaanibwa aweebwe ekibonerezo ewatali kubuzaabuza kwa ngeri yonna.
Bano bagamba nti olw’ekigula kyabwe n’omwana eyakabassanyizibwa okubeera muzibe, poliisi ne kkooti basaanidde okukola amangu okunoonyereza omusango gusindikibwe mu kkooti enkulu guwulirwe omulamuzi awe ensala nga bukyali.
Ye taata w’omwana, Muhamood Amin ategeezezza nti olw’obuwagizi obulagiddwa abaliko obulemu n’emikutu gy’amawulire egizze gikola ku nsonga eno, alina obuvumu kati nti oba oly’awo muwalawe eggya kusobola okufuna obwenkanya.
Ono agambye nti muwalawe yaddamu okusoma ng’embeera gy’alimu si mbi bamufaako okulaba ng’ava mu birowoozo ebyali bimuzinzeeko oluvannyuma lw’ekikolwa eky’okukabassanyizibwa.
Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/dr-eron-lawrence-owa-kyambogo-university-eyasobya-ku-muyizi-muzibe-azziddwa-e-luzira/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=dr-eron-lawrence-owa-kyambogo-university-eyasobya-ku-muyizi-muzibe-azziddwa-e-luzira
Comments are closed.