Gen. Nalweyiso Atikkidde 54 N’abawa N’ebyalaani N’ensimbi Enkalu Ng’entandikwa

Gen. Nalweyiso ng’abayizi bamuwa ekirabo ekimusiima.
Rtd. Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso, omuwabuzi wa Pulezidenti mu by’obufuzi afulumizza abayizi 54 abakuguse mu kutunga ebyalaani. Bano bamaze kutendekebwa okukulungudde emyezi mukaaga mu ttendekero lya Nalweyiso Technical Academy nga lino mu kiseera kino lisomesa baana n’abantu abakulu okuli abawala n’abalenzi abava ku kyalo ky’e Ntaawo Gen. Nalweyiso kw’awangaalira.
Ng’ayogera mu kutikkira abayizi, Gen. Nalweyiso yalabudde abayizi ne bazadde baabwe okwewala okukulembeza eby’obusosoze mu by’obufuzi, mu mawanga, mu ddiini n’agamba nti bino bizza ebitundu emabega.

“Nze mbasaba kimu, kasita obeera eyo ng’olina obwetaavu, oba owagira NRM ne Pulezidenti Museveni nze gwe mpagira oba nedda, gyangu osome kasita bya bwereere, bw’omala okusoma ng’oddayo ng’owagira abantu bo ggwe b’oyagala. Oba oli wa ddiini ki, oba oli mulokole, oba oli wa ggwanga ki, nze ssaagala kumanya, nze njagala kuweereza na kukyusa bantu mu kitundu kyange,” Gen. Nalweyiso bwe yagambye.
Gen. Nalweyiso ng’ayogera.
Bino yabyogeredde mu maka ge agasangibwa e Ntaawo mu munisipaali y’e Mukono ku matikkira ag’omulundi ogw’okusatu ag’abayizi abakuguse mu kutunga. Ku mulundi ogwasooka, abayizi 38 be baatikkirwa ate ku gw’okubiri 41 nga bano nga bwe gwali mu kusooka, ne ku mulundi guno buli muyizi eyatikkiddwa yaweereddwa ebbaluwa emulaga ng’amaze okusoma, ekyalaani n’ebbaasa erimu ensimbi enkalu emitwalo 50 okubayambako ng’entakidwa basobole okwetandikirawo bbizinensi bafune ensimbi okusobola okweggya mu bwavu. Baatikkiddwa ku Lwomukaaga.

Gen. Nalweyiso yategeezezza nti ye kino akikolwa lwa kuyamba abo abatalina mirimu okufuna entandikwa ey’amagezi ate n’ebyalaani ssaako ensimbi ezo entonotono okubayamba okwetandikirawo emirimu beeyambe okweggya mu bwavu.
“Abayizi wano mbasomeseza bwereere. Oluvannyuma lw’ebbanga nga nziruukirira abantu ababa bafunye ebizibu eby’enjawulo, okudduukirira abantu ababa bafiiriddwa n’okuyamba abamu ababa balemereddwa mu kusoma, bwe nnawummula emirimu gya gavumenti nannoonya ekintu ekiyinza okunnyamba okusigala nga nkyateeka ettoffaali ku ggwanga lyaffe okusingira ddala ku kyalo kyange kwe nva eky’e Ntaawo ne ndaba nga bwe nkola kino, kiyamba okusinga ebirala byonna,” bwe yannyonnyodde.
RDC Ndisaba ng’akwasa omu ku bayizi abalenzi ebbaasa omuli safitikeeti n’ensimbi.
Gen. Nalweyiso, RDC Ndisaba n’abamu ku bayizi abalenzi abaafulumye.
Emikolo gino gyatandise na kusaba okwakulembeddwamu Rev. Samuel Tumwesigye omusumba ku kkanisa ya St. James e Ntaawo ng’ono yatenderezza Gen. Nalweyiso olw’enteekateeka y’okudduukirira abantu abali mu bwetaavu ng’abayamba nabo okufuna obusobozi obwetandikirawo bbizinensi ezaabwe beebeezeewo.

RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka eyakuliddemu amatikkira gano naye yasiimye Gen. Nalweyiso olw’omulimu guno ogw’obwannakyewa gwe yeetuma ate oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gya gavumenti nga talina wadde ekigendererwa eky’esimbawo ng’abakulembeze abasinga bwe bakola.

Ndisaba abayizi abazze basomesebwa Gen. Nalweyiso yabawadde amagezi okwekolamu ekibiina ng’abatunzi basabe ensimbi za gavumenti mu nteekateeka nga PDM, Emyooga n’endala olwo basobole okwongera amaanyi mu mulimu guno n’okwekulaakulanya.
Asst. RDC wa munisipaali y’e Mukono, Godfrey Mwogeza ne mukyalawe nga RDC Ndisaba abakwasa ebbaasa. Omukyala y’omu ku bayizi abaasomye okutunga.
Abamu ku Bannamukono abaabaddewo baasiimye Gen. Nalweyiso olw’enteekateeka eno gye yatandikawo ng’ono ateekateeka na kuzimba bizimbe eby’ettendekero eriyimiridde ayongere okugaziya obuweereza buno. Amyuka RDC w’e Mukono, Mike Ssegawa yasiimye Nalweyiso olw’okwerekereza ensimbi ez’obukadde n’azisiga mu miti emito okulaba ng’abayamba okufuna obukugu okwetandikirawo emirimu bafune ensimbi ezibabezaawo.
Abamu ku bayizi abaakuguse mu kutunga.
Stephen Ssemanda omukulembeze yasiimye Pulezidenti Museveni olw’okulengera abantu nga Gen. Nalweyiso n’abasembeza n’agamba nti ono wa mugaso nnyo eri ekintu kye eky’e Ntaawo nga teyakoma luli ng’akyali mu buweereza bwa gavumenti naye yagenda mu maaso n’oluvannyuma lw’okuwummula.
Gen. Nalweyiso, RDC Ndisaba, Rev. Tumwesigye nga beegasse ku bayizi okusala kkeeki.
ssentebe w’ekyalo kino eky’e Ntaawo, Male Bakipapankulawa nga mukyalawe y’omu ku bayizi 41 abaatikkirwa omulundi ogw’okubiri agambye nti ono kati wanjawulo nnyo nga takyalinda za kameeza naye ensimbi z’afuna okuva mu kyalaani azikozesa okuddukanya ewaka ne bw’aba nga ye ng’omwami taliiwo.
RDC Ndisaba ng’afukamidde okwebaza Gen. Nalweyiso olw’okuyamba okusomesa abayizi ku bwereere.
Gen. Nalweyiso yagambye nti ali mu kunoonya ensimbi okusobola okuzimba ettendekero elyetongodde aliwandiise ne mu mateeka nga buli kimu bwe kyetaagisa olwo abayizi babe nga bafuna ne zi ddipulooma n’amabaluwa okuva mu kitongole kya DIT nga bwe guli ku matendekero amalala.
Asst. RDC wa munisipaali y’e Mukono, Godfrey Mwogeza y’omu ku bafunye mu nteekateeka eno ng’ono naye mukyalawe yasomye era n’aweebwa ekyalaani n’ebbaasa erimu lupiiya.
Rev. Tumwesigye wakati ng’emikolo gigenda mu maaso.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/gen-nalweyiso-atikkidde-54-nabawa-nebyalaani-nensimbi-enkalu-ngentandikwa/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=gen-nalweyiso-atikkidde-54-nabawa-nebyalaani-nensimbi-enkalu-ngentandikwa