Kiki Ekiri Emabega W’enkyukakyuka Enkambwe Bp. Banja ze Yalangiridde e Namirembe?
Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja abaali obuweereza bwe butandise okukaawa, abalowooza okubeera abanene okusinga ye oba okusinga obulabirizi abasitukiddemu era bamutenda bukambwe.
Wiiki ewedde, ono yagobye kkwaya ya Lutikko y’e Namirembe ebadde engundiivu n’asaba bammemba baayo bade ebbali n’abateekako n’olukiiko lubanoonyerezeeko.
Omulabirizi Banja teyakomye okwo, era yasiguukuludde n’abamu ku baawule ababadde boogerwako ng’ab’amaanyi era abaazimba obwakabaka mu busumba bwabwe ssaako abakulira ebitongole eby’enjawulo mu bulabirizi buno obw’e Namirembe nga bano yabakyusizza n’abasindika baweererezeeko ne mu busumba obulala.
Enkyukakyuka zino omulabirizi yazanjulidde mu lukiiko olufuzi oluteekerateekera obulabirizi olwatudde mu kizimbe kya Bp. Dunstan Nsubuga e Namirembe nga lwetabiddwamu abakulembeze b’ekkanisa ab’enjawulo, ba Ssaabadinkoni, abasumba, n’abakulembeze b’amakanisa ku mitendera egy’enjawulo.
Mu zimu ku nkyukakyuka Bp. Banja ze yakoze ne zituuka n’okujja abagoberezi enviiri ku mitwe be basumba ab’enjawulo be yakyusizza n’atuuka n’okusiguukulula abasumba ababadde boogerwako ng’abaazimba obwakabaka mu busumba bwabwe nga tebakwatibwako emyaka egiwezeeko egy’omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira ng’ono Bp. Banja gwe yaddira mu bigere.
Abaawule abaakyusiddwa
Abaawule abakwatiddwako mu nkyukakyuka zino mulimu; Rev. Canon Micheal Ssentamu eyalondeddwa okukulira ettendekero ly’abaawule e Namugongo, Rev. Abel Sserwanja Mereewooma ng’ono yaggyiddwa e Kireka n’atumibwa e Kitegomba, Rev. Esau Bbosa Kimanje nga yaggyiddwa e Namugongo n’atumibwa e Kireka, Rev. Grace Kavuma eyaggyiddwa e Namugongo n’atumibwa e Bbuye-Kigoowa era ng’ono y’agenda okumyuka akulira eby’enjiri mu bulabirizi bw’e Namirembe.
Ye Rev. Andrew Kafeero yatumiddwa okumyuka vviika w’e Namugongo era chaplain wa Namugongo Martyrs Seminary ne Rev. Henry Muguzi eyaggyiddwa e Kitegomba n’atumibwa e Nateete ng’omusumba omubeezi.
Omulabirizi Banja era yalonze abadde Ssaabadinkoni w’e Lugazi mu bulabirizi bw’e Mukono, Canon David Mpagi n’amuwa okubeera omuwandiisi w’ekitongole ky’eby’enjigiriza ssaako Pafula Kaggwa Lubega Omukulisitaayo mu busumba bw’e Kamuli ng’ono yamufudde muwanika wa bulabirizi omuggya ng’agenda kudda mu bigere bya Rev. Canon Isaac Membe Kijjambu.
Abaawule abaakyusiddwa baaweereddwa ebbanga lya myezi ebiri okuteekateeka amagenda gaabwe n’okumyumyula engugu nga August 1, 2024 lubasange nga bagenze mu bifo gye baasindikiddwa.
Bp. Banja asitukidde mu kkwaya ya Lutikko
Mu bimu ku by’alese abangi ng’omulabirizi Banja bamunyeenyeza mutwe, kwe kuwera kkwaya ya Lutikko y’e Namirembe mbagirawo, n’abakulembeze baayo bonna ng’agamba nti bayitirizza okumuyisaamu amaaso n’okunyooma.
Mu zimu ku nsonga ze yawadde, Bp. Banja yanokoddeyo emirundi egisukka mw’ena kkwaya eno gy’ezze emujeemera ng’abalagira okuyimba ennyimba n’okukuba ennanga mu kusaba ne basigala nga batudde bamutunuulira butunuulizi.
N’olw’ekyo, olukiiko lwasazeewo okuyimiriza kkwaya eno n’abakulembeze baayo bonna era ne balagira wateekebwewo amateeka amapya agalungamya abayimbi n’abaweereza b’ekkanisa abalala. Mu nkola empya, abayimbi baakuddamu okuwandiisibwa okusobola okubeera n’abo abeetegefu okugondera amateeka n’okulungamya kw’Omulabirizi. Abayimbi era bagenda kutandika okukuba ebirayiro era baweebwe layisinsi ya mwaka mulamba nga kino kyakuzingiramu n’abaweereza b’ekkanisa abalala.
Omuyimbi yenna ssinga amanya amateeka n’okujooga abaweereza b’ekkanisa, layisinsi ye yaakumuggyibwako nga kino kyakuyambako okugolola abayimbi ba mawale ettumba.
Ensinza etali ya Kikulisitaayo Omulabirizi agiweze
Omulabirizi Banja era teyakomye okwo, yagenze mu maaso n’awera ebikolwa bye yayise ebitali bya Bukulisitaayo ebibadde bimaamidde mu bulabirizi ng’abaweereza n’Abaawule babadde baabitandika omuli okusiiga amafuta, okusiiga omuzigo ebisenge by’amayumba g’abantu amapya nga bagayingira, obukodyo bw’okuggya eminya mu bantu nga babasabira ssaako ebirala bingi bye yagambye nti emyaka gy’amaze ng’asoma Bayibuli tabirabangamu.
Era ensonga eno yasindikiddwa mu lukiiko olukulira eby’eddiini n’ensinza bongere okugyekebejja. Ensinza empya ezizze zisensera mu bantu nga zitambulira ku njigiriza ez’ekifuulannenge omuli okugaana abantu amannya g’ebika, okubagaana eby’okulya ebimu nti bya mizimu nga kino tekitaliza na masomero byonna byawereddwa bunnambiro.
Kkooti yobulabirizi eyongeddwamu amaanyi
Munnamateeka w’obulabirizi Fredrick Mpanga yasomedde abakiise emisango egigenda okuvunaanibwa abaweereza abaweereza mu kkooti y’obulabirizi eyitibwa Tribunals of the Church, nga kkooti eno yateekebwawo mu ssemateeka w’ekkanisa ya Uganda mu 1972 n’ekolebwamu ennongoosereza mu 1994 ne 2016.
Omuweereza yenna anatwalibwanga mu kkooti y’ensi ng’azizza omusango era ne gumusinga, ajja kuwozesebwanga ne mu kkooti y’obulabirizi.
Omuweereza yenna anaakola ekintu ekireeta okwesisiwala, era nga kityoboola ekitiibwa ky’ekkanisa ajja kuba azzizza omusango era alina okuwozesebwa mu kkooti eno.
Obutagondera ssemateeka w’obulabirizi n’owoobusaabalabirizi.
Okunyooma ebisaliddwawo mu nkiiko z’obulabirizi nagwo musango.
Okulekawo obuvunaanyizibwa bwo ng’omuweereza nagwo musango.
Okuleetawo enkola ereeta okwawukana mu kkanisa okugeza enkola ereeta ekkanisa endala mu kkanisa musango era mu kkooti eno abantu bajja kuwulirizibwanga era bakkirizibwa okwewozaako.
*Bisimbuliddwa okuva mu lupapula lwa Bukedde*
Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/kiki-ekiri-emabega-wenkyukakyuka-enkambwe-bp-banja-ze-yalangiridde-e-namirembe/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=kiki-ekiri-emabega-wenkyukakyuka-enkambwe-bp-banja-ze-yalangiridde-e-namirembe
Comments are closed.