Obulabirizi Bwe Mukono Bwekubidde Enduulu eri President Museveni, Baagala Minisita Mayanja Agobwe lwa Kulengezza Ssaabalabirizi Kazimba N’okulagira Bamenye Ekkanisa
Abaweereza mu kkanisa ku mitendera egy’enjawulo mu bulabirizi bw’e Mukono beekubidde enduulu eri omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni ne bamusaba ayambe ensi akome ku Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja gwe bagamba nti asusse okulengezza bakulembeze banne nga kati asitukidde mu b’ekkanisa.
Bano bagamba nti Minisita Mayanja n’ekolaye ey’emirimu etuuse okwongera okudibaga emisango gy’ettaka n’enkaayana kuba alabise nga ye ye kamala byonna takkiririza mu nkola ndala yonna omuli emisango okuwulirwa mu kkooti oba okukolebwako abakulembeze abamanyiddwa mu mateeka gamba nga woofiisi za ba RDC.
Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ng’asinziira e Nakanyonyi mu Nakifuma-Naggalama TC mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwokukubiri, ku limu ku ttaka erigulubya ekkanisa olw’abantu abaalyesenzaako abagifuukidde akayinja mu ngatto, yalaze obutali bumativu olwa Minisita Mayanja okusikuulira ekkanisa ekukuuzi ng’akuba mu bantu omuliro okumenya ekkanisa ssaako okulengezza Ssaabalabirizi Stephen Kazimba Mugalu.
“Abakulembeze nga Minisita Mayanja bwe batagambibwako n’okubakomako, ensi bajja kugisuula mu ddubi. N’olw’ekyo tusaba wabeerewo ekikolebwa ng’ekizimba tekinnasamba ddagala,” omulabirizi bwe yategeezezza.
Abamu ku bakyala n’abaweereza ab’enjawulo abeetabye ku mukolo guno mu kifaananyi ekya wamu.
Ng’asinziira ku mukolo abakyala ba Mothers Union mu bulabirizi bw’e Mukono kwe baakulizza olunaku lwa Maliyamu ku woofiisi zaabwe mu kibuga Mukono ku Lwomukaaga, Ssaabadinkoni w’e Ngogwe, Canon Stephen Kironde yalaze obutali bumativu olwa Minisita Mayanja okulengezza Ssaabalabirizi Kazimba n’ekkanisa ya Uganda yonna okutwalira ewamu.
Canon Kironde yasabye Pulezidenti Museveni okukoma ku Minisita Mayanja ng’embeera tennayongera kusajjuka, nga n’okusinga baagala amuwummuze ku buvunaanyizibwa buno bwe yamuwa bw’agamba nti bumuyinze kati by’akola takyabimanyi adibagabudibazi nsonga!
“Wabula ne Minisita Mayanja ng’omuntu omukulu, tumusuubira okuvaayo yeetondere mukadde waffe. Kuba kye yakoze kyatumenye nnyo emitima, ekyo bwe kinagaana tugenda kumuteeka mu ssaala Katonda aggya kumukolako nga ye bw’anaaba asiimye,” bwe yategeezezza.
Wabula bino we biggidde, nga Minisita Mayanja yavuddeyo n’alya ebigambo bye bwe yafulumizza ekiwandiiko ku Mmande ng’agamba nti talagirangako kkanisa kumenyebwa nti baamukwata bubi ne wankubadde nga ye kennyini yakwatibwa ku kkamera ng’alagira Ssaabalabirizi Kazimba agende bunnambiro amenyewo ekkanisa addize abakyala abakadde ababbibwako ettaka lyabwe ne kuzimbibwako ekkanisa.
Catherine Kitto, mukyala w’omulabirizi w’e Mukono ng’ayogera.
Canon Kironde yagasseeko nti kyabadde kikyamu Minisita Mayanja okusala omusango nga tasoose kuwuliriza ludda lwa kkanisa wadde okutunula ku biwandiiko by’enjuyi zombi kuba ettaka lifugibwa biwandiiko ng’oli okuvaayo n’alaga obwannanyini ku ttaka aba alina okulaga endagaano bw’aba wa kibanja oba ekyapa bw’abeera ow’ettaka, wabula ng’ebyo byonna Minisita Mayanja talina na kimu kye yalabyeko.
Canon Kironde yagambye nti obulabirizi bw’e Mukono buliko ettaka lyabwo lingi eryesenzeddwako abantu nga bazze balwanagana nabo okumala emyaka egisoba mu 20 nga n’emisango giri mu kkooti.
Emirundi mingi n’abaweereza ba Katonda ababeera mu bitundu ebyo balumbiddwa kyokka nga ne bwe tekubira enduulu mu woofiisi ez’enjawulo eza gavumenti omuli ne mu Minisitule y’eby’ettaka, k’abeere Minisita Mayanja tavangayo kubayamba,” bwe yanyonnyodde.
Yanokoddeyo ekiri e Nakanyonyi n’agamba nti olw’okukuuma ebintu by’ekkanisa ebiri ku ttaka eryo, obulabirizi busasaanya obukadde 7 buli mwezi ez’okukuuma naye ng’ebyo byonna babikola mu bulumi kuba ettaka limanyiddwa nga lyakkanisa ng’abanyazi kwe basinziira okubatigomya.
Ng’asinziira ku kyalo Kirangira ku Lwokuna bwe yali mu kulambula ebyalo eby’enjawulo mu Mukono okuli enkaayana z’ettaka wakati w’ekkanisa n’abatuuze abalumiriza ekkanisa okusenda amayumba gaabwe n’ebirime, Minisita Mayanja yatuuka ku kyalo Kirangira abatuuze ne bamulombojjera ennaku ebalabisiddwa ekkanisa n’abaweereza baayo eb’ekkanisa ya St. Luke Town Church e Kirangira nga bakulemberwa omusumba Rev. Rogers Kityo.
Josephine Kasaato, akulira Mothers Union mu Buganda ng’ayogera.
Bano omuli n’abakadde baafukaamirira Minisita Mayanja nga bagamba nti abataase ku kkanisa eyazimbibwa ku bibanja byabwe nga baszooka na kusendawo mayumba gaabwe na birime byabwe ewatali wadde okuliyirirwa.
Ng’ayanukula, Minisita Mayanja yalaga obutali bumativu olw’ekkanisa okusendawo ebibanja by’abantu abanaku n’ebaleka nga bayagga n’alagira Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu okumenyawo ekkanisa eno addize abantu ebibanja byabwe oba abaliyirire mu bwangu.
Ye eyali omukubiriza w’abakulisitaayo mu bulabirizi buno, Omutaka Christopher Kaddu Namutwe naye akunze ekkanisa okufaayo ennyo okukuuma ebiwandiiko n’agamba nti abantu bangi abeesomye okubba ebintu byabyo.
Ku mukolo guno, akulira Mothers Union mu Buganda, Josephine Kasaato yakulembeddemu omulimu gw’okusonda ssente ez’okumaliriza ekifo ewagenda okukuumibwa abaana abato ekimanyiddwa nga ‘Day Care centre’ ng’eno y’emu ku nteekateeka abakyala ba Mothers Union mu bulabirizi buno gye bakoze okuggyamu ssente n’okulaba nga bakuuma abaana ba bannaabwe babawonye okutulugunyizibwa abakozi be babalekera ewaka nga bagenze okukola.
Ate mukyala w’omulabirizi w’e Mukono, Catherine Kitto naye yakunze abazadde okukuza obulungi abaana nga bali ku musingi gw’eddiini n’agamba nti ye essira yalitadde mu masomero okulaba ng’ayamba abaana okukula nga batya Katonda.
Ensimbi obukadde butaano ze zisondeddwa mu buliwo. Sarah Ssewanyana akulira Mothers Union mu bulabirizi bw’e Mukono ayogedde ku pulojekiti ya ‘day care eno gye bawomyemu omutwe n’agamba nti bagoberera nnyo ensonga ezituusibwa ku baana abakozi b’awaka abazadde be babalekera nga bagenze okukola nga y’ensonga lwaki baayagadde okuteekawo ekifo kino kiyambeko okukuuma abaana nga balamu tebaliiko obulabe bwonna ate n’okubayamba okuva obuto nga balimu eddiini.
Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/obulabirizi-bwe-mukono-bwekubidde-enduulu-eri-president-museveni-baagala-minisita-mayanja-agobwe-lwa-kulengezza-ssaabalabirizi-kazimba-nokulagira-bamenye-ekkanisa/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=obulabirizi-bwe-mukono-bwekubidde-enduulu-eri-president-museveni-baagala-minisita-mayanja-agobwe-lwa-kulengezza-ssaabalabirizi-kazimba-nokulagira-bamenye-ekkanisa
Comments are closed.