News Everyday

Okusengula Ab’e Bukasa: Omukungu wa Gavumenti Alwanidde mu Lukiiko

0

BYA TONNY EVANS NGABO
| BUKASA-KIRA | KYAGGWE TV | Abakungu okuva mu minisitule y’enguudo n’emirimu baasanze akaseera akazibu okumatiza abatuuze b’e Bukasa ekisangibwa mu munisipaali y’e Kira ku nsonga y’okubasengula nga tebalinze na kubaliyirira.
Bano baabadde bagenze kubawa nsalessale wa ssabbiiti emu yokka nga bavudde mu kifo kino olwo basobole okuwa gavumenti ekyanya okutandika omulimu gw’okuzimba omwalo gw’e Bukasa, nga guno gukandaaliridde lwa bantu kweremeza mu kifo kino.
Abamu ku batuuze abeetabye mu lukiiko.
Abatuuze abaabadde abamalirivu baatadde ku nninga ba kkamisona n’abakungu ba minisitule okwabadde n’abasirikale ba poliisi ab’amayinja nga baagala babannyonnyole kijja kitya ate okwagala okubasengula nga tebasoose kulowooza ku kyakubaliyirira ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yabasuubiza.
Bano baategeezezza nti Pulezidenti Museveni yasuubiza nga gavumenti bwe yali egenda okugula ettaka mu kifo ekirala olwo gye baba basengukira wabula ng’ate kyababuseeko, bwe babadde bakyalindririra ekyo ate abakungu ne battukiza eby’okubasengula.

Wabula bano baakatemye abatuuze nti bbo ebyo ebya Pulezidenti Museveni okubayiririra bye bajuliza tebabimanyi ne babasaba okuteeka mu nkola ekibalagiddwa bave mu kifo kino mu mirembe oba balinde okubasengula ku mpaka.
Bino bisiikudde abatuuze emitima ne batamuuka ng’enjuki enkubemu ejjinja nga bawakanya eby’abakulu nga n’ekiddiridde omu ku ba kkamisona avunaanyizibwa ku pulojekiti y’okuzimba omwalo guno Rosemary Tibirwa okunyakula omuzindaalo n’agukuba omu ku bakulembze b’abatuuze ssaako okwegwa mu bulago.

Abakungu banno embeera eyongedde okubabijjirira ng’abatuuze babalumiriza okuziimuula ekiragira kya ky’omukulembeze w’eggwanga bwe yayita abantu abakwatibwako  ku nsonga eno  mu makaage e Nakasero n’abaako bye yabasuubiza oluvannyuma lw’okubawuliriza.
Wabula oluvanyuma kkomisona Wilson Lwenaga avunaanyizibwa ku by’okuliyirira abantu yamaze n’apondooka ku nsonga eno. Yagambye nti bagenda kwongera okwetegereza ensonga era baakuddayo bategeeze abantu ekinaaba kisaliddwawo.

Amyuka omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Tushimwe Gerald wamu n’amyuka RDC w’e Kira, Ntale Emmanuel bakkakkanyizza embeera era ne balagira ba kkamisona okuddayo  beetegereze bulungi ensonga okusinga okusika omuguwa n’abatuuze.
Olukiiko gye lwagweredde ng’abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Kaddu John bakombye  kw’erima nti ssibaakuseguka mu kitundu kino okutuusa  nga ensonga zaabwe zimaze okugonjoolwa nga Pulezidenti Museveni bwe yasuubiza.

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/okusengula-abe-bukasa-omukungu-wa-gavumenti-alwanidde-mu-lukiiko/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=okusengula-abe-bukasa-omukungu-wa-gavumenti-alwanidde-mu-lukiiko

Leave A Reply

Your email address will not be published.