Poliisi Y’e Mukono Eggalidde Munnansi W’e Jamaica Eyaloopye Abaamubbidde ku Star Gardens
Poliisi y’e Mukono yeefuulidde munnansi wa Jamaica bwe yaddukiddeeyo okuloopa omusango gw’okumubbako ssente ne ttiketi y’ennyonyi mu kifo ekisanyukirwamu wabula ate abasirikale ne baggaliramu ye.
Audrey Williams (29) enzaalwa y’e Jamaica ng’agamba nti abeera Canada ye yeekubidde enduulu ng’ayagala okuyambibwa olw’abasirikale ku poliisi e Mukono okumwefuulira ne batamuyamba bwe yagenzeeeyo nga bamubbyeko ensimbi ezisoba mu mitwalo 90 ne ttiketi y’ennyonyi eyabadde ey’okumuzza e Canada ng’eno ebalirirwamu obukadde bw’ensimbi za Uganda 7.
Williams agamba nti yatuuka ku Star Gardens e Mukono gy’abadde amaze emyaka musanvu nga buli lw’ajja mu Uganda gy’asula nga n’abamu ku bakozi mu kifo kino bamumanyi wabula ku Mmande ku makya, yafunye obuzibu abakozi mu kifo kino bwe baamulabirizza ne bamubba ensimbi ezaabadde mu kasawo k’omu ngalo.
“Nnasabye ennamba y’essimu ya maneja w’ekifo ne mmutegeeza ebyabaddewo. Mu bbanga ttono, Maria Kafeero ng’ono bantegeezezza nti ye mukyala wa nnannyini kifo yatuuse n’akazakkaza abakozi be wabula nga buli omu asonga mu munne olunwe. Poliisi yatuuse n’ekwatako babiri be nnategeddeko nga Resty ne Isma. Bano oluvannyuma baabatadde,” bwe yannyonnyodde.
Williams agamba nti yasoose kusaba Maria batunule mu kkamera kuba we baabadde zaabadde zitunuddewo bulungi kyokka baagaanye nga ne bwe baatuuse ku poliisi kye yasabye.
“Oluvannyuma abasirikale baakitegedde mbu ekifo kya Star Gardens kya mukama waabwe mbu kkamisona wa poliisi Moses Kafeero ne batandika okuncangacanga n’okutuusa olwaleero nga sinnafuna kuyambibwa. Baagasseeko okuntiisatiisa nga bwe bajja n’okunkuba amasasi ssinga siva ku nsonga zino,” bwe yannyonnyodde.
Williams yeekubidde enduulu eri ab’amawulire n’abategeeza ekyabadde kimutuseeko era nabo ne bamutuusa ewa DPC w’e Mukono, Edrisa Kyeyune eyatudde mu nsonga zino n’alagira omusirikale eyabadde akoze ku ffayiro ye okugenda naye batunule mu bifaananyi naye nga kino mbu bwe baatuseeyo agamba nti ye baamugaanye okulaba ebyabadde mu bifaananyi.
Bano baategeezezza nga Williams bwe baabadde batalaba bujulizi bwonna mu kkamera bulaga nti yabbiddwa wabula nga baamulabye ng’ate yeemoola n’abamu ku bakozi abakyala abakola wano ne basalawo okumuggulako omusango nti alabika aliko ebikolwa ebya mbyone bye yabadde ayagala okukolera mu kifo kya mukama waabwe era ne bamuggalira.
Bano eby’omusango gw’okubbibwa kwa Williams wano we baabikomezza. Wabula ab’amawulire bwe baabitegedde ne bagenda ewa DPC ne bamutegeeza ebyabaddewo era n’ayita omusirikale n’alagira omukyala bamute.
Mu kwogerako n’omwogezi wa poliisi atwala ebitundu bya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti bwe yeebuuzizza ku batwala poliisi y’e Mukono bamugambye nti Williams yateereddwa.
Eby’embi, eby’omusango gwe ogw’okumubbako ssente tebalina kye baamutegeezezzaako. Williams yategeezezza nga bw’atalina kyakuzzaako kuba ttiketi gye baamubbyeko n’ensimbi bye bibadde bigenda okuyamba mu lugendo.
Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/poliisi-ye-mukono-eggalidde-munnansi-we-jamaica-eyaloopye-abaamubbidde-ku-star-gardens/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=poliisi-ye-mukono-eggalidde-munnansi-we-jamaica-eyaloopye-abaamubbidde-ku-star-gardens
Comments are closed.