News Everyday

Kyagulanyi ali Mukono anoonya buwagizi bwa NUP-poliisi ebakase okukyusa olukungaana mu Njogezi

0

Pulinsipo w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amakanda agasimbye Mukono olwaleero okutalaaga ebifo eby’enjawulo nga bw’awuubira ku bannakibiina n’okubawa obubaka obw’enjawulo obw’enkyukakyuka.
Kyagulanyi olunaku alutandikidde Nakasajja ku luguudo oluva e Kampala okuyita e Gayaza ppaka Kayunga gy’ayaniriziddwa bannakibiina mu bungi olwo n’ayolekera Kalagi gy’agguddewo woofiisi y’ekibiina eya kkonsituwensi ya Mukono North.

Ng’ayogera n’ab’amwaulire ku kitebe ky’ekibiina ekikulu e Kavule mu divizoni y’e Kawempe, nga tebannasimbula kwolekera Mukono, Kyagulanyi akunze Bannakibiina okwongera okubeera abakkakkamu n’agamba nti wadde poliisi ezze ebakolako ebikolwa eby’ekko omuli n’okubatangira okutambula n’okunoonya obuwagizi ng’ekibiina ekiri mu mateeka, bbo baakwongera okukola ebyo ebiri mu mateeka.
Ono asiimye ab’amawulire n’abasaba obutakoowa ku mulimu gwe baliko n’agamba nti bongere okutunuza kkamera mu bakuuma ddembe nga bali eyo gye batambulira babalage ebyo bye bakola ebimenya amateeka era ebityoboola eddembe ly’obuntu.
“Abakulu tebasaanidde kwerabira nti ka bubeere ddi, ekiseera kijja kutuuka baanukule era bassulire ebikolwa ebyo bye bakola olwaleero nga balowooza nti bamaanyi nnyo era balina obuyinza.

Agambye nti kyannaku okulaba ng’ate bano be bamu baagala okubalabisa nga bbo aba NUP be batulugunya abantu mbu nga n’okukozesa bakozesa ba mawulire ekitali kituufu.
Wabula ono yabadde akakasizza nga bwe bagenda amakanda okugasimba ku kisaawe mu Njogezi okumpi n’amaka g’omubaka wa palamenti owa Mukono Betty Nambooze Bakireke wadde nga kino poliisi yakisazizzaamu.
Oluvannyuma lw’okumala olunaku lulamba ku Lwokubiri nga poliisi n’eby’okwerinda abalala bali n’abakulembeze ba NUP abaakulembeddwa Ssaabakunzi w’ekibiina Fred Nyanzi era ne bakkaanya olukungaana lwa Kyagulanyi olugenda okufundikira lwe baabadde bategese mu takisi ppaaka balukyuse baluzze mu Njogezi.
Aba NUP nga batikka ebyuma byabwe okuva mu Nogezi bagende e Ntaawo poliisi gye yabasindise.

Wabula ate ku Lwokubiri akawungeezi, amyuka omwogezi wa poliisi Luke Owoyesigyire yafulumizza ekiwandiiko ng’agamba nti olukiiko luno terulina kukibibwa mu Njogezi nga baasazeewo Kyagulanyi alukube ku kisaawe e Ntaawo.
Wabula kino aba NUP baakiwakanyizza ne bagamba nti ka gwakwe k’etonnye balina okukuba olukungaana mu Njogezi. Na bwe kityo bano bakedde kuteeka byuma mu kifo kino kyokka poliisi n’ebalabuukirira n’eyiwa abawanvu n’abampi.
Kkansala Sseggayi ng’ayogera.
Bano aduumira poliisi y’e Mukono Edrisa Kyeyune yabalagidde okwamuka ekifo kino era wadde basoose kwesisiggiriza, oluvannyuma lwa DPC okulagira basajja be okuggyawo ebyuma nga babiteeka ku mmotoka ya poliisi, bano bapondoose.
Kkansala Lukeman Sseggayi akubye essimu n’abaako be yebuzaako era bano bamulagidde ayogere ne poliisi ebakkirize ebyuma babiggyewo babitwale e Ntaawo.
Kino kye kikoleddwa ne bapakira ebyuma byabwe ne bookera e Ntaawo olwo ekifo ky’e Njogezi poliisi n’esigala ng’ekyakikuuma.
 
 

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/kyagulanyi-ali-mukono-anoonya-buwagizi-bwa-nup-poliisi-ebakase-okukyusa-olukungaana-mu-njogezi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=kyagulanyi-ali-mukono-anoonya-buwagizi-bwa-nup-poliisi-ebakase-okukyusa-olukungaana-mu-njogezi

Leave A Reply

Your email address will not be published.