Connect with us

Published

on

Minisita Nabakooba ng’ayogera, ku kkono ye Doreen Tumushabe akulira Mukono MZO.
Minisita w’eby’ettaka, ebibuga n’amayumba, Judith Nabakooba alagidde omukozi mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono n’aggalirwa ng’amulanga bulagajjavu obwaviirako ekyapa ekyamukwasibwa omu ku batuuze eyagendayo ng’ayagala obuweereza okukkakkana nga kibuze mu ngeri etategeerekeka.
Aisha Nantongo ye yaggaliddwa ng’amuvunaana ye Patrick Kirunda omutuuze w’e Namutumba wabula ng’alina ettaka e Mukono. Bino byabaddewo ku Lwokutaano Minisita Nabakooba bwe yabadde e Mukono ng’agenze okutongoza enkola ey’omutimbagano ng’abantu bagenda kuba basobola okukebera okumanya ebifa ku byapa byabwe nga bwe biyimiridde nga bakozesa amasimu gaabwe aga ‘smart phone’ kiyite sseereza oba kompyuta.

Nantongo okukwatibwa, kyaddiridde Kirunda okumulumiriza nga bwe yagenda mu woofiisi y’eby’ettaka e Mukono emanyiddwa nga Mukono Ministerial Land Zonal Office (MZO) ng’atutteyo ekyapa kye okuva mu bbanka ng’aliko ensonga ze balina okutereeza kyokka ennaku ze yamuwa okuddayo okukifuna bwe zatuuka n’agenda n’amutegeeza nga bwe kyali kyabula.
“Nnaleeta ekyapa kyange mu woofiisi eno nga April 3, 2023 kyokka omukozi gwe nnakiwa n’ankolera obukakafu obulaga nti akifunye. Yambuuza nti oba kyetaagisa okunfunira omuntu ayinza okunnyambako okukola ku nsonga zange mu bwangu wabula ne mmutegeeza nti ndi Munnayuganda ategeera obulungi nga n’olw’ekyo sseetaaga kuyambibwa muntu yenna. Yampa ennaku 15 nti bwe ziyitawo ndyoke nzireyo ng’olwo bamaze okukikolako. Nange nnakola nga bwe yangamba. Era ennaku ze yampa olwaggwako ne nzirayo, wabula bwe nnatuuka, n’atandika okunoonya ekyapa. Nga wayise essaawa nga nnya, yakantema nti ekyapa takiraba, n’ansaba ngira ntudde wabweru ayongere okunoonya era bwentyo bwe nnakola,” Kirunda bwe yalombozze.
Patrick Kirunda alumiriza Nantongo okubuza ekyapa kye ng’annyonnyola.
Ono yagasseeko nti obudde nga bwewerekedde ng’olunaku luzibye, omukyala ono talina kye yamugamba era n’obudde obudda e Namutumba gye yali avudde bwali buyise n’apangisa loogi mwe yasula n’akeera bukeezi.
Yategeezezza nti yakitegeerako nti omukozi oyo gwe yawa ekyapa kye bamuyita Aisha ng’ekirungi olwa tuuse n’akebera nga ne mu woofiisi mwali atudde.
Yagambye nti bwe yaddayo, baamuwa omukozi omulala amuyambe okunoonya ekyapa kye naye naye teyakiraba.
Minisita Nabakooba nga yeetegerez ebiwandiiko by’omukadde Nnamwandu Ssekkonde (ku ddyo). Ku kkono ye Doreen Tumushabe akulira Mukono MZO.
Eby’embi, Kirunda yagambye nti bwe yeekubira enduulu eri akulira woofiisi ya MZO e Mukono, Doreen Tumushabe nti yamutegeeza nga bw’alina okunoonya ensimbi ennyingi yeetegekere okugoba ku nteekateeka ey’okumuwa ekyapa ekipya nga kino agamba yakigaana n’amutegeeza nti tayina ssente zaakugoba ku kyapa kipya ate nga yawaayo ekyapa kye n’obukakafu abulina naye kyabulira mu mikono gyabwe.
Wano Minisita Nabakooba yayingidde butereevu mu nsonga za Kirunda n’ayita abakozi abavunaanyizibwa naddala eyakwasibwa ekyapa, Aisha Nantongo ng’ono bwe yaweereddwa akazindaalo okunnyonnyola nga bwe byajja yatandise na kwetonda Minisita kwe kulagira omumyuka wa RDC w’e Mukono omuggya, Hassan Kasibante amutwale ku poliisi e Mukono annyonnyole butya bwe yabuza ekyapa kya bandi.
“Obulagajjavu ekika kino tetuyinza kubutunuulira butunuulizi kuba abantu ng’ono be boonoonye ekifaananyi kya woofiisi za gavumenti. Bw’aba akirina akireete olwo omusango anaaba agwejjeeredde, bwe kitaba kityo, poliisi etwale mu maaso omusango guno,” Nabakooba bwe yalagidde.

Ono era yalagidde nti woofiisi ya MZO y’erina okukola byonna ebyetaagisa ng’emitendera bwe giri omuli n’okusasula ensimbi okulaba nga Kirunda afuna ekyapa kye bwe banaaba baakukola kipya nti talina kusasulayo wadde omunwe gw’ennusu.
Minisita era yafunye n’okwemulugunya okuva eri abantu ab’enjawulo omuli n’omukadde Roselyn Ssekkonde nnamwandu eyamutegeezezza nti emyaka egisoba mu 10, aba UNRA bwe baali bakola oluguudo lw’e Katosi baabatwalako ebyapa byabwe naye ne gye buli eno balwanye okubibaddiza teri ssuubi.
“Kyannaku nti tekyali kiyinza kukolebwa ku byapa byaffe okutuusa nga bamaze okubituddiza. Emyaka mingi kuba n’abamu ku bannaffe balwadde ne bafa nga n’ensimbi ezibajjanjaba tebazirina kuba akataka ke banditunze bejjanjabe, obuguzi tebuyinza kugenda mu maaso nga tewali byapa. Nneewuubye wano teri kuyambibwa, Maama Minisita nnyamba, bannange bantiisa eyo nti nnyinza n’okuba ndi wano ng’ettaka baalitunda!” bwe yannyonnyodde.
Amyuka RDC w’e Mukono Kasibante ng’ayogera, ku kkono ye Minisita Nabakooba.
Minisita era yalagidde Doreen Tumushabe akulira MZO e Mukono okulaba ng’akwatagana n’aba UNRA buli muntu atannaddizibwa kyapya kye kimuddizibwe.
Nabakooba yagambye nti kino kirina kukolebwa mu bwangu abantu bano baweebwe ebyapa byabwe n’agamba nti kino baakikkanyaako dda ne Minisita w’eby’entambula n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala ssaako nnankulu wa UNRA, Allen Kagina.
“Njagala kin o kikolebwe nga ne UNRA tennagattibwa mu minisitule kuba ate kiyinza okwongera okutabangula ensonga n’abavunanayizibwa okufuna eby’okwekwasa,” Nabakooba bwe yattaanyizza.

Abakozi okuva mu minisitule y’eby’ettaka okuli Ivan Ssekitooleko ne Sarah Namuddu baasomesezza abantu ku nkola empya ey’okumanya ebikwata ku byapa byabwe nga bakozesa amasimu oba emitimbagano wabula ne bategeeza nti kino oli aba alina okubeera ne data ku ssimu ssaako okuba n’endagamuntu kuba mu kujjuza, waliwo omuntu w’alina okuteeka ennamba ya NIN ssaako okuba nti oli alina okubeera n’ensimbi ku ssimu mu nkola ya Mobile Money kuba nti ssinga oli ky’abuuza ku kyapa akifuna, olwo aba alina okusasula ssente omutwalo mulamba.
Amyuka RDC omupya, Kasibante yategeezezza Minisita nti emivuyo mingi mu woofiisi z’eby’ettaka nga n’okusinga gikosa nnyo abantu abanaku ab’ebibanja abagagga ab’ebyapa be batunda nga tebamaze na kubategezaako.
Kasibante yasabye Minisita nti kyetaagisa gavumenti okuteekawo enkola nga n’abantu ab’ebibanja basobola okubaako obukakafu obubaweebwa okuva mu gavumenti mu ngeri y’ekiwandiiko nga kiraga bulungi oli ekibanja kye bwe kyenkana.
 

Related
Let others know by sharing https://kyaggwetv.com/minisita-nabakooba-aggalidde-omukozi-mu-woofiisi-yebyettaka-e-mukono-bamulumirizza-okulagajjalira-ekyapa-ne-kibula/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=minisita-nabakooba-aggalidde-omukozi-mu-woofiisi-yebyettaka-e-mukono-bamulumirizza-okulagajjalira-ekyapa-ne-kibula

News

Ugandan Citizen Abducted, Held in Secret Detention for Three Months, Sparks Outrage and Calls for Justice

Published

on

A disturbing new case of unlawful detention has surfaced, highlighting the ongoing human rights crisis in Uganda. A Ugandan citizen was reportedly abducted and held in a secret facility, known as a “safe house,” for three months, only to be released without charge or explanation. This incident, reported by NTV Uganda, has sparked widespread condemnation and renewed calls for accountability regarding human rights abuses in the country.
While the details surrounding the abduction remain unclear, reports indicate that the individual was taken without due process and held incommunicado—an action that has long been condemned by human rights organizations. The victim’s release, with no charges filed and no clear justification, has angered activists and citizens, who view this as yet another case of egregious abuse of power by the state.
“This is a recurring pattern,” said one human rights activist. “Abductions, secret detentions, and unexplained releases have become all too common in Uganda. These acts violate fundamental human rights and erode public trust in the justice system.”
The use of “safe houses,” unregistered detention facilities reportedly operated by security forces, has been a focal point in numerous allegations of torture and illegal imprisonment. Despite repeated calls from both local and international organizations for their closure and accountability for those involved, little action has been taken to address these violations.
This case underscores the urgent need for reform within Uganda’s security apparatus and greater accountability for human rights abuses. Observers hope that drawing attention to these injustices will spur concrete action to bring those responsible to justice and ensure the protection of basic human rights.
As frustration mounts, calls for both domestic and international pressure to hold the government accountable for such crimes grow louder. “One day, there must be accountability for all these crimes against our people,” stated one social media user, reflecting the sentiments of many Ugandans.

Ugandan Citizen Abducted, Held in Secret Detention for Three Months, Sparks Outrage and Calls for Justice

Continue Reading

News

NUP Gathering Disrupted: Kyagulanyi Alleges Security Force Harassment and Arrests

Published

on

National Unity Platform (NUP) President Robert Kyagulanyi has accused Ugandan security forces of using excessive force to disrupt a planned NUP gathering. The allegations were detailed in a statement shared on Twitter, following an event held to honor children of NUP supporters who were killed, disappeared, or detained for their political beliefs.
According to Kyagulanyi, security personnel, under the command of an officer identified as Asiimwe, carried out a preemptive operation early in the morning upon learning of the NUP’s plans. The forces allegedly stormed the premises, arrested workers, and deployed tear gas to disperse those present.
“The criminals under the command of one Asiimwe deployed early morning, arrested our workers, and threw tear gas into our premises. They’ve cordoned off the premises and blocked all people from accessing the place,” Kyagulanyi wrote.
Among those reportedly arrested were Saava Peter, Mudenya Samson, and Turyasingura Samson. Kyagulanyi claimed the detained workers were subjected to beatings and interrogated about their political affiliations, with security operatives labeling them as terrorists.
“These JATT operatives asked the workers who they support politically, branding them terrorists and criminals—their only crime being that they work with us. You can imagine the indignity!” Kyagulanyi lamented.
This incident adds to the growing tension in Uganda’s political climate, where opposition parties frequently accuse the government of stifling dissent. Despite the challenges, Kyagulanyi ended his statement with a message of defiance and optimism, proclaiming, “UGANDA WILL BE FREE.”

NUP Gathering Disrupted: Kyagulanyi Alleges Security Force Harassment and Arrests

Continue Reading

News

Sudan Demands Apology from Uganda Over Army Chief Muhoozi Kainerugaba’s Threat to Invade Khartoum

Published

on

Sudan has demanded an official apology from Uganda over “offensive and dangerous” comments made by the chief of Uganda army staff, who threated to invade Khartoum, the Sudan Tribune has reported.
General Muhoozi Kainerugaba, son of Ugandan President Yoweri Museveni and CDF of the Ugandan army, posted two comments on the X platform on Tuesday in which he threatened “to capture Khartoum” with the support of the US President elect Donald Trump after he takes office. The posts were deleted later.
“The government of Sudan demands and official apology from the Ugandan government for the offensive and dangerous comments of the army commander,” Sudan’s foreign ministry said in a statement that the Sudan Tribune said it has seen.

Sudan Demands Apology from Uganda Over Army Chief Muhoozi Kainerugaba’s Threat to Invade Khartoum

Continue Reading

Trending

Copyright © 2024